OMUBALA AKAALA KENGO NAMUZISA NABUTO GWEMPITA
Obwakabaka bwebwafe, Obwakabaka yenono yaffe , era yensibuko yobujjajja
Bulimuntu wano muyuganda alina ensibuko oba obwakabaka mwaviira naye
Okuweesenganya ekitiibwa kyamakulu nnyo eri obwakabaka obulala.
Ensanji zino abaana twetanidde nnyo okugoberera eneeyisa yabazungu
Wabula ezaffe netuzisuula muguluka edda enyo twateranga okuliira kulujuliero
Gwenootula wama noggumira naye ensanji zino tusitama kubutebe gwe namagulu
Netuwanika. Omuwala okumanya okuwaata, okusaanika, saako nokufumba naye
Twabisuula muguluka. Twetanidde nyo okukozesa amadagala gabazungu netutamanya
Nti gakosa obulamu bwaffe so nga elyaffe eganda lyerisinga. Empisa nazo teyuzirese
Ngo kubuuza nga tuyimiridde,okulya ngotambula,okwambala enkunamyo. Wabula
Tusitukire wamu ngabaganda tulwanirire obuwangwa bwaffe nga tumanya okufumba,
Okwambala,okutambula ngomuganda,okumanya ekitiibwa kya Buganda
SSABASSAJJA KABAKA MUWENDA MUTEBI II WANGAALA