Nkobazambongo club

OBUBAKA BWA BAWALABANGE

TETUDIBYANGA ENKOLA Y’OKUKYALIRA ENSIKO!!

Eno enkola tegenderelwa kubalumya wabula kukwagaliza obufumbo bwo

ob’wessanyu anti bw’osika abalongo bano(enfuli) nga weyambisa ekitengotengo,ssezzimaana oba kale akatengotengo kikuyambako okukuuma ebbugumu mu mbugo(obukyala)olw’omukuumi (oluku,enfuli)asigala ebweru! Kino bwe muba mukaboozi kikuuma omwami ng’akyayime nekimusobozesa okukutuusa ku ntikko. Naye bwoba tolina tolina bbugumu mu mbugo muganzi wo tajja kukumazisa anti agwa mangu!!

Wabula bw’oba nolirina osaana oyenge kanunkuma  akole ekyovu omale oyongerewo ku tuzzi onaabenga mu mbugo okumala wiki emu nkakasa nti ebbugumu ojja lifuna.

MWETTANIRE NNYO OKUNAABA KU KAYAAYANA N’OLWEZA;

Eddagala lino lyankizo ate lirabikalabika mwattu anti bw’olinaaba ng’oliyenze oba emikisa n’obuganzi okukumbye bikukumbe!! Naye kyabuswavu nnyo omukyala okutambula mayiro newera nga teri musajja akusiiyizzaako wadde omulema n’owettulu nabula?!!

TUMANYE NTI MADDU GA DDENGE…OFUUWA BW’OKOMBA;

Ensagi abakazi munswazizza nnyo!! Enkumbi mwazisuula wa?? Atagimanyi kano ke kawero  omukazi yenna nga bagenda mukikolwa ne muganzi kalian okuba nako, kano akakozesa okusiimula obusajja bwa muganzi we okumusobozesa addemu mu kazannyo sigma aba agudde. Naye olina okukakuuma butiribiri! Bwekalikutandanga omuntu omubi n’akakubbako oli okawangamudde olibonaabona mpaka bwolyetamwa obufumbo!!!

MAWEJJE SHARIF

Shax…

KOJJA;BANKOSA

0758015005/0757127389

‘‘AWANGAALE SABASAJJA KABAKA’’

 

Leave a Reply